Omukyala alina omwana alina obulwadde bw'okwesika asaba buyambi
Waliwo omukazi asobeddwa oluvannyuma lw’omwana we okulumbibwa obulwadde bw’okwesika obutandise okumugongobaza
Omuwala ono w’amyaka 22 gyokka, ekisinga okumuluma kwekuba nga ku myaka ebiri n’ekitundu omwana we gyalina, tavangamu wadde ekigambo.
Ekirala kwekulemererwa okulabirira omwana we olw’ensawo enfunda anti atunda mu baala nga bamuwa ekumi satu zokka olunaku.