Omukazi alumbye ekitebe kya disitulikiti n'abaana
Omukazi Scovia Nsungwa nga ono mutuuze ku kyalo Nakawere ekisangibwa mu muluka ogw’e Kiteredde mu gombolola ye Kalangaalo yasazeewo okusitula abaana bbe nebalumba wofiisi za disitulikiti e Mityana nga agamba talina wakuteeka zadde lino.
Ono agamba nti nannyini ttaka kwebali yabagoba kyoka bba James Kakooza bweyagezaako okwerwanako n’akwatibwa nga 28 omwezi gw’omwenda nakati taddangamu kulabikako.