Omukayala atubidde n'abaana, bba yadduka
Rita Nangendo atemera mu gy’obukulu 31, atubidde n’omwana gweyazaala nga alina amazzi ku mutwe - Bba yamuddukako olw’okuzaala omwana ekika kino.
Ono yali abeera Mbale gyeyafuna omusajja ono kyoka nga wetumusangidde azze kunoonya bazadde be beyaleka e Buwama mu Mpigi emyaka 15 emabega naye ebyembi nabo tebalabikako.
Mukiseera kino talina wadde awokubeera nga kwotadde n’eky’okulya.