OKUZIIKA SSAABALABIRIZI YONA LWANGA :Omubiri gwa kutuka wano ku lwa mukaaga
Ekelesia y’abasodookisi ekakasiza nga omubiri gwa Ssaabalabirizi Yonah Lwanga bwegugenda okuddizibwa kuno ku lw’omukaaga ku makya nga ennaku z’omwezi 16 omwezi guno.
Ono wakuziikibwa ku balaza ku eklesia e Namug’oona kyoka nga abantu batono bebagenda okukirizibwa okugulabako n’okwetaba mukuziika olw’okwetangira okusaasana kw’ekirwadde ki Covid - 19.