Okuggwa kwaffe tekulimu mawanga nadiini - Sseninde
Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebisookerwako Rosemarry Sseninde oluvanyuma lw’okuwangulwa asisinkanye abantu abamunoonyeza akalulu e Wakiso.
Sseninde avumiridde banne ab’ekwasa ediini n’amawanga nti kwekwavudde okuwangulwa mu bitundu byabwe, nga yye akissa kubunnanfusi bwa NRM.
Bano amaziga gabayiseemu olw’okuwangulwa akalulu, yye Sseninde abagumizza nga bwagenda okusigala nga akolagana nabo okutwala disitulikiti ya Wakiso mu maaso.