OKUBALA OBULULU KUYIISE: Akabookisi akamu kasangiddwa kasumulule
Omulamuzi wa kooti e Masaka agobye okubala obululu okwabadde kusabiddwa minisita w’eby’obulimi n’obulunzi Vicenti Bamulangaki Ssempijja nga awakanya okuwangulwa kwa munna NUP Francis Katabazi.
Kino kidiridde okusanga akabookizi k’obululu akamu nga kasumulule nebayimiriza okubala.