OBUWANGUZI BWA BAAGALA BUSAZIDDWAMU :Kkooti e Mubende eragidde okulonda kuddibwemu
Kkooti enkulu e Mubende esazizaamu obuwanguzi Joyce Bagala NtwaAtwa ku ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mityana. Kkoti egamba nti ono yagulirura abalonzi - Judith Nabakooba eyawangulwa nga kati minisita w’eby’ettaka yeyatwala omusango mu kooti nga awakanya okulondebwa kwa Bagala. Baagala nebanne banna NUP bagamba beetegefu okudda mu bantu wabula nga nebalooya bbe bategeezeza nga bwebagenda okujjulira ensala eno.