Mininsitule y’eby’entambula ekkirizza bbaasi za Link okuddamu okusaabaza abantu
Kyaddaaki mininsitule y’eby’entambula ekkirizza bbaasi za Link okuddamu okusaabaza abantu oluvanyuma lw’okuyimirizibwa gyebuvuddeko. Kino kyaddirira akabenje emu ku bbaasi zino keyagwako okumpi n’ekibuga Fortpotal era minisitule n’eziyimiriza okumala ebbanga lya wiiki 2. Kyokka ssi zonna nti zigenda kuddamu okukola.