Kooti essazeewo nti ekibiina ki NUP kyawandisibwa mu mateeka
Kooti enkulu mu Kampala,kyadaaki etyemudde omusango ogubadde guleseewo enkalu ku bwannanyini bw’ekibiina ki National unity platform wakati wa Robert Kyagulanyi, kko neyali nnyinkyo Moses Kibalama.
Omulamuzi Musa Ssekaana abadde mu Mitambo gy’omusango akakasiza nti mpaawo teeka lyamenyebwa nga obukulembeze bw’ekibiina kino bukyusibwa,kko n’erinnya, kale nga ekibiina kiriwo mu mateeka.
Oluwagudde omusango ,akulira ekibiina kino Robert Kyagulanyi nawera okuwenja akalulu ku bwa pulezident nga mpaawo amukuba ku mukono.