Kiteeberezebwa nti abaana 4 baweereddwa obutwa e Kyazanga
Waliwo abaana 4 abapookyeza mu dwaliro e Kyazanga mu disitulikiti y’e Lwengo nga kiteebereezebwa okuba nga baweereddwa obutwa. Taata w’abaana bano olunwe alusonze mu mulirwana we bwebatalima kambugu mbu yandiba nga yeeyakoze kino.