KCCA erabudde abatimba ebipande nga tebamaze kufuna lukusa
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ki KCCA kyakutimbulula ebifaananyi bya bannabyabufuzi byonna ebyatimbibwa mu bukyamu mu Kampala.
Bagamba nti ekitongole kyali kyalambika dda engeri ebifaananyi bino gyebirina okutimbibwamu naye bangi bagaanye okugondera ebiragiro bino.
KCCA egamba nti ebipande bino bireese akavuyo kangi mu kibuga okuli n’obubenje wamu n’okutataaganya eby’okwerinda.