Enkuba egoyezza abe Kanungu, eyonoonye e bizimbe n'ebirime
Abatuuze mu disitulikiti y’e Kannungu bali ku bunkenke oluvanyuma lwa namutikkwa w’enkuba eyatonnye olunaku lweggulo okuleka nga eyonoonye ebintu ebyenjawulo. Ebimu ku byayonooneddwa kuliko amasomero, amalwaliro, enyumba z’abaserikale n’ebirala.