Enkaayana ku ttaka,ababadde balinza Minista Mayanja Bakiguddeko
Abatuuze ku byalo 7 e Mutungo mu gombolola y’e Nakawa basula ku tebuukye olw’eyeeyita nanyini ttaka okwagala okubagobaganya ku bibanja bwabwe. Basaba gav’t ebayambe esasule nanyini ttaka lino bafune ebyappa kuba tebalina waakudda - olwaleero bakungaanye nga babasuubiza okusisinkana minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja wabula naye talabiseeko.