E BWAISE OMUKAZI ATTUTE BBA MU MBUGA :Amulangira kwonoona bintu bya mu nju
E Bwayise mu zooni ye katoogo waliwo omukazi atutte bba Isa Kyambadde mu mbuga z’amateeka ng’amulanga kumwononera bintu bya munju buli lw’anyiiga. Jamira kirabo yavudde mu mbeera n’asaba ab’akakiiko ke kyalo bakangavvule bba Kyambadde, kubanga alina ekyejo buli lw’anyiiga adda ku bintu bya munju ng’ayasa.