Banna NRM e Wakiso basabye abakulembeze babayambeko
Abakikwatidde ekibiina kya NRM bendera mukalulu akabindabinda mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo bawanjagidde abakulu mukibiina okubaako akassente kebabadduukirira okuddukanya kakuyege wabwe.
Bino babadde babitegeeza minisita Rose Ssenidde akabatemye nga bwebalina okwesalira amagezi kubanga amateeka tegabakiriza kugaba ssente.