Bangi bagamba Emyooga ekontana n'obusiraamu
Microfinance Support Centre evunaanyizibwa ku Myooga kiraze obwenyamivu olw'abantu abakyalemeddwa okwettanira enteekateeka eno mu disitulikiti y’e Butambala nga beekwasa
obukwakulizo bwebagamba nti bukontana n'eddini y'obusiraamu.
Okusinziira kumateeka g'emyooga, ba memba balina kwewolera kumagoba ga bitundu 8 ku kikumi, kyebagamba nti kikyazingamiza enkola eno kubanga kikontana n’amateeka g’ekisiraamu.