Ba Kkansala e Kyotera beekandagga nebagaana okuyisa embalirira y'omwaka gw'ebyensimbi 2023&24
Ba Kkansala ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Kyotera beekandagga nebagaana okuyisa embalirira y'omwaka gw'ebyensimbi 2023/24 nga entabwe eva ku kyabutafuna nsako yabwe. Bano bagamba bamaze emyezi ena nga tebalina kyebafuna. Mu mbeera yemu bbo ab’e Kayunga bakiise ensingo oluvanyuma lw’okuyisa embalirira yabwe kyoka ebitundu ebimu nebitalowozebwako.