Amyuka katikiro avumiridde abamansa kasasiro
Omumyuka wa akatikkiro asooka Hajji Twaha Kawaase talina bigambo biwooma eri abatuuze abagufudde omuze okukasuka kasasiro mu myala ate nebakubira gav’t omulanga nti ebayambe.
Okwongera bino abadde atongoza bulungi bwa nsi akulemberamu emeefuga ga Buganda agabeerawo buli mwaka nga 8 omwezi gw’ekumi.
Kaweefube ono atongozeddwa Kireka mu gombolola y’e Namugongo e Kira mu sazza ly’e Kyadondo.