Akatale k'omubuulo e Kayunga: abakulembeze beetemyeemu ku ky'ekifo we kali
Abakulembeze mu tawuni kanso ye Kayunga bakubaganye empawa ku nsonga z’okusengula abasuubuzi abakolera mu katale k’omubuulo akali wakati mu kibuga kye Kayunga.
Abamu ku ba kansala bakaanye ne meeya wa tawuni kanso David kavuma ku ky’okusengula akatale kano , songa yye ssentebe wa disitulikiti Andrew Muwonge nga ali wamu ne bakansala abamu bawakanya eky’okujjawo akatale kano.