Abakulembeze mu Kampala bawakanyizza ensimbi ezisabibwa aba bodaboda
Gav’t eri mukaweefube w’okuwandiisa abavuzi ba boda boda naddala mu kibuga Kampala okusobola okulung’amya omulimu gwabwe. Wadde ga abavuzi ba boda boda babadde bajjumbidde enteekateeka eno beemulugunya ku nsimbi emitwalo omukaaga egyibajjibwako. Kyoka minisita wa Kampala Kyofatogabye Kabuye etegeezeza nga ensimbi zino zisasulwa kutendekebwa. Mukiseera kino abavuzi ba boda boda abali eyo mu 4,000 bamaze okutendekebwa.