Zaake atabuse ku bawambibwa, asindikiddwa mu kakiiko ka mpisa
Omubaka wa munisipaali w'emityana Francis Zzaake asindikiddwa mu kakiiko akakwasisa empisa nate, nga alangibwa kusiwuuka mpisa. Kiddiridde Zzaake okugaana okugoberera okusalwo kw’amyuka Sipiika, Thomas Tayebwa, abadde yaakamugaana okwogera n’amulagira atuule. Zzaake kino kimutabudde n’alangira amyuuka sipiika okumugaana okwanja ensonga y’abantu ba National Unity Platform NUP abagenda abaawambibwa ab'ebyokwerinda entakera.