Wuuno omusajja amaze n’omukyala eyalemala emyaka kkumi
Abafumbo nga bakuba ebirayiro, balagaanya abaagalwa baabwe okubeera nabo lubeerera, mu bulungi ne bubi, mu bulwadde ne mu bulamu. Wabula mu bulamu obwa bulijjo embeera y’obulwadde bw’ejja buli omu akugumiikiriza kusinziira ku ndwadde ki ekulidde. Patrick Okore nga mutuuze w’omu district y’e Kumi ekirayiro ky’obufumbo wamma alabika nga yakikuba n’omutima gumu, kubanga abadde ne mumyala we okumala emyaka kkumi yafuna ekimbe ekyamukuba ku ndiri, ekimuziba amaaso ssaako n’omumwa. Okore agamba tayinza kulekerera mukyala we ono kubanga yalayira okumukuuma mu mbeera yonna mpozzi ng’okufa kwekubaawukanyizza.