Wakyaliwo enkalu mu kulunngamya omulimu gwa abatembeeyi mu kibuga
Ekitongole ekivunanyizibwa ku kibuga Kampala kiwadde abasuubuzi abatundira ku nguudo wamu n'abatembeeyi nsalessale okwamuka ebifo bino nga tebannagyibwako namukono gwa kyuuma. KCCA egamba abatembeyi okukolera ku nguudo battattana ekifaananyi ky'ekibuga. Kyokka ye Loodi meeya wa Kampala Sssalongo Erias Lukwago agamba abantu bano tebasaana kugobebwa wabula okulungamya enkola yabwe ey'emirimu.