SIRAJE BAKALEKE: Kkooti eyisizza ebbaluwa emuyita
Wednesday September 05 2018
Kkooti ewozesa abalyake n’ababbi ba ssente za gavumenti eyisizza ebbaluwa etumya ofiisa wa Poliisi Siraje Bakaleke n’aba poliisi abalala 6.
Abantu bano beetaagibwa mu bwangu ku misango 12 - okuli okukozesa obubi wofiisi, okuwamba abantu n’okwekobaana okuzza emisango.
Bakaleke ne banne okuyitibwa kiddiridde omuwaabi wa gavumenti Harriet Angom okutegeeza kkooti nti takakasa oba nga ddala abawawaabirwa bano baafuna ebbaluwa ezibayita ezabaweerezebwa mu July w’omwako guno.
Omusango omukulu mu gibavunanaibwa gwa kukwata bannansi ba China basatu nebabaako webabasibira olwo nebabatwalako ddoola za America ezisoba mu 4000. Kigambibwa nti byaliwo mu mwezi gw’okubiri omwaka guno.
Samuel Nabeta akulira kampuni ya Eye power ye yekka eyeeyanjudde eri kkooti nasomerwa emisango era gyonna nagyegaana.