Robert Kyagulanyi azzeemu okulumba abalamuzi
Omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu azeemu okulumba ekitongole ekiramuzi naddala abalamuzi ba kkooti ensukkulumu ku kyayise obutamuwa mwaganya kwoleka mivuyo gyali mu kulonda. Kyagulanyi bino abyogeredde mu makaage e Magere gyasisinkanye ba meeya ba Town council, amagombolola wamu ne ba Kkasala okuva mu Kampala ne Wakiso