Pulezidenti wa UFA aliwa?
Ab’ekibiina ki Uganda Federal Alliance bali mu kusattira oluvannyuma lwa President wekibiina kya kyabwe Robert Lujja Kayingo okumala ennaku bbiri nga talabikako. Kigambibwa nti ono yabuzibwawo ku lwokuna lwa wiiki eno nga kyajje atonnye ku kisaawe e Ntebe okuva mu ggwanga lya South Africa gye yalı ku mirimu emitongole.