OMUTAKA LWOMWA OMUGGYA: Ab’ekika ky’endiga banjulidde Katikkiro gwe baalonze
Ab'ekika ky'endiga banjulidde Katikkiro wa Buganda omutaka Lwomwa omujja ow'ekika ky'endiga eyalondeddwa okuyita mu bulombolombo bwonna obwetaagisa.
Eria Lwasi Buuzaabo yaddidde omutaka Lwomwa Daniel Bossa eyavudde mu bulamu bw'ensi eno oluvannyuma lw'okusindirirwa amasasi . Ono entanda bamusibiridde ya kugatta n’okukumaakuma abazzukulu mu ngeri ebazza eri Ssaabasajja Kabaka wa Buganda.