OKWETANGIRA COVID-19: Katikkiro asabye ab’amasaza battukize enjiri
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ajjukkizza obuganda ne bannayuganda okutwaliza awamu ku kabi akali mu kulagajjalira emitendera gy'okwetangira ekirwadde ki COVID-19. Mayiga abadde asisinkanye abaami b'amasaza n'amagombolola gyasinzidde okubalagira battukize okusomesa abantu okwetangira ekirwadde kino ssaako n'okwegemesa ng'embeera teennasajjuka. Wetwogerera ng'ekirwadde kino kyeyubudde mu mawanga agamu nga Buyindi era nga kyeyongedde obukambwe mu kutirimbula abantu.