OKUSIBIRWA AWAKA: Mukyala Kyagulanyi alojja bye bayiseemu
Okuva kalulu ka bonna lwe kaggwa nga 14 January, Ssentamu Kyagulanyi ne mukyala we Berbie Itungo babadde baasalibwako ab’ebyokwerinda nga n'abamu bali mu kikomera kyabwe munda. Kkooti yayisizza ekiragiro ekigobawo abantu bano - olwaleero abantu basobodde okubalabako era awo wetwogeredde ne Berbie Itungo n’atubuuulira nti batuuka n’okwebaka mu mpalo olw’okutya ab’ebyokwerinda abaazingako amaka gaabwe