OKULWANYISA ENGUZI KU KISAAWE ENTEBBE: Kaliisoliiso abiyingiddemu, asiimye bannayuganda olw’okuvaayo
Kalisoliiso wa Gavumenti, Betty Olive Kamya atenderezza omulimu ogwakolebbwa bannayuganda okwanika obuli bw'enguzi obubadde bufumbekedde ku kisaawe ky'ennyonyi Entebbe naabasaba bakikole ne mubitongole bya gavumenti ebiraLa kibayambeko okulwanyisa enguzi eno.
Agamba ekyakoleddwa ku kisaawe Entebbe kituukagana n'enteekateeka ya kalisoliiso wa gavumenti okutwala olutalo lw'okulwanyisa enguzi mu bantu ssekinoomu naddala abo abasinga okunyigirizibwa. Kati ategeezezza nti baakussaawo okunoonyereza mu kitongole ekitwala eby'entambula y'ennyonyi kubanga bingi ebikyetaaga okuvumbulwa.