OKUGOBA ABANTU KU TTAKA: E Luweero waliwo abasula bakukunadde
Enkyayana n’okugobaganya abantu ku ttaka ky’ekimu ku bikyasomooza banna Uganda era bangi abakalubirizibwa obulamu oluvanyuma lw’okunyigirizibwa mu mbeera efanana bweti. Abatuuze abali eyo mu 700 ku kyalo Yandwe ekisangibwa mu Ggombolola ye Butuntumula e Luwero gebakaaba g’ebakomba oluvanyuma lw’okugobaganyizibwa ku bibanja byabwe ng’abekitongole ky’ebibira kigamba nti basenga mu bukyamu. Mu kugobaganyizibwa ebintu byabwe ebiwerako bizze by’onoonebwa omuli okubasaayira ebirime n’okukoona amayumba gaabwe. Herbert Kamoga alondodde ensonga eno okuzuula nanyini ttaka lino omutuufu.