OKUDDUUKIRIRA EBY’OBULAMU: Waliwo abawaddeyo masiki ne mmotoka
Minisitule y'ebyobulamu eriko ebintu ebikozesebwa mu kulwanyisa ekirwadde kya Covid-19 byefunye okuva mu mawanga g'omukago gwa Bulaaya, ekitongole ky'amawanga amagatte saako IGAD. Muno mubaddemu ambulance, masiki nga byakuyamba mu bifo by'okunsalo saako ebirimu ababundabunda.