OKUBALUKA E KOMAMBOGA: Abakulembeze banennyezza poliisi obutakwasisa kaafiyu
Abakulembeze mu kitundu kye Komamboga ewaabalukidde bbomu banenyezza ab'ebyokwerinda olw'obutakwasisa byakwerinda Covid-19 nga kyekyavuddeko abantu okubanga bakungaanira mu kifo ekisanyukirwamu mu budde bwa kaafiyu Abakulembeze bano balumiriza nti ebiragiro bya kaafiyu bibadde tebikola ky'enkanyi mu kitundu kino nga ne poliisi ne bweba ekoze ogwayo, eremesebwa essimu okuva mu bakulu.