OKUBALA ABANTU: Enteekateeka ziwedde
Ekitongole ekikola ku bibalo ekya Uganda National Bureau of Statistics kitegeezezza nga enteekateeka z'okubala abantu ez'omulundi guno bweziwedde .Mu kubala abantu bano okugenda okumala enaku 10 , aba UBOS balabudde abantu obutakkiriza bantu bonna babakonkona mu mayuba gabwe ekiro nti bagala okubabala okujjako nga bukedde .Wabula batangaazizza nga bwewaliwo ekika ky'abantu abagenda okubalibwa mu kiro naddala abo abatalina webasula wankalakkalira.