Obuyiiya mu by’eddagala: Ogwang ayagala gav’t etuukirize obweyamo bwayo
Professor Patrick Ogwang eyakola eddala lya covidex okuyambako mu kujjanjaba ekirwadde ki Covid-19 ayagala gavumenti etuukirize obweyamo bwayo asobole okutumbula obuyiiya bwe mu byeddagala. Ono agamba nti eddagala lyettanirwa mu mawanga g’ebweru wabula nga kyetaagisa okulitongoza ku mutendera gwensi yonna lisobole okuba eryenkiso. Ogwang ayogedeko naffe nga yakadda kuno okuva mu ggwang lya Tanzania gye yasiimiddwa mu byobuyiya bw’okukozesa obutonde okujjanjaba endwadde ezenjawulo.