OBULI BW’ENGUZI: Poliisi ezzeemu okwetikka engule
Poliisi ekyeliisa nkuuli mu kulya enguzi okusinziira ku kunoonyereza okukoleddwa offisi ya kalisoliiso wa gavumenti n’ekitongole ekikola ku bibalo oba UBOS. Alipoota etuumiddwa National Intergrity Survey ey’omulundi ogw’okuna eraga nga enguzi n’obulyake bwebweyongedde mu ggwanga nga ne bannayuganda bagimanyidde ekibaviiriddeko n’okufuna olulimi lwebakozesa okukigaba . Amyuka Ssaabawabi wa gavumenti ateeseza nti ebintu nga ebizimbe ebiteberezebwa okuzimbibwa mu ssente z'omuwi w'omusolo bikwatibwe bunnambiro, bannyinibyo baleete obukakafu kuba kizuuliddwa nti abasinga babiwandiisa mu manya g’abalala.