NUP YEETEMYEMU E MASAKA: Poliisi yeetaasizza ebiwayi ebigugulana
Abawagizi b'ekibiina ki NUP bagwanganye mu malaka mu kibuga Masaka .Kiviriddeko ne Poliisi okukuba omuka ogubalagala okusobola okutaasa embeera. Entebwe evudde ku bamu ku bbo ababadde batuuzizza olukungaana lw'abamawulire nga bavumirira enguzi , ekiyisiza obulala abamu ekiviriddeko n'okuyuza ekiwandiiko ekibadde kisomebwa. Abawagizi ba NUP e Masaka betemyemu omuli abo abawagira Mathius Mpuuga n'abawagira Meeya Florence Namayanja saako kaweefube w'ekibiina okwetereza.