MWETEGEKERE EKIBULULU: UMEME egamba abantu emitwalo 10 baakukosebwa buli lunaku
Kampuni ya UMEME etegezeeza nti bakasitooma baayo abasoba mu mitwalo kumi bebagenda okukosebwa ekibululu buli lunaku. Kino kyavudde ku kuggalawo ebbibiro lye Isimba eryafunye ekizibu ky'okwanjaala kw'amazzi mu byuuma ebikola amasanyalaze. Ekizibu kino okusinziira ku UMEME kyavirideko okukendeera kwamasanyalaze obungi bwa megawatts 90 UMEME bwebadde egabira bannayuganda.