MUYIMBULE ABASIBE: Nakibinge ayogedde ku baasibwa olw’ebyobufuzi
E Kibuli abakulembeze basabye gavumenti ekome ku bakola mu bitongole ebikwata mmundu okukomya okutyoboola eddembe ly'obuntu n’okukubanga ab’amawulire. Omulangira Kasim Nakibinge naye asabye bekikwatako mu gavumenti bayimbule bonna abali mu makomera ku misango gy’ebyobufuzi. Agamba nti toyinza kukaka muntu kwagala ky’atayagala oba okumukyayisa ky’ayagala.