MULEETE AMANNYA: Palamenti etadde gav’t ku nninga ku by’abawambibwa
Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde minisita w’ensonga z'omunda okuleeta awatali kulemererwa olukalala lw’abantu abali mu mikono gyabebyokwerinda olunaku lw’enkya. Abantu aboogerwako beebo abagambibwa okuba nga bawambibwa ab’ebyokwerinda nga n’okutuusa kati ab'enganda zabwe tebamanyi gyebali. Bbo abamu ku babaka ba palamenti bagamba okulwawo okufulumya olukalala luno kyongera okuteeka benganda z'abantu bano ku bunkenke.