Mmotoka z’abakulembeze b’ennono, Buganda yegaanye eby’okuweebwa ensimbi
Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okukkaatiriza nga bwe butaafuna kumanyisibwa ku nteekateeka ya gavumenti ey’okuwa abakulembeze ab’ennono emmotoka era tewali nsimbi zonna ze bwafunye okuva mu gavumenti nga zeekuusa ku by’okugula emmotoka.Okusinziira ku minisita w’amawulire era omwogezi w’obwakabaka bwa Buganda Owek. Israel Kazibwe Kitooke obwabaka era tebwakkaanya na gavumenti ku nteekateeka yaayo ey’okuwa abakulembze ab’ennono emisaala kubanga mu nnono ya Buganda Kabaka taweebwa musaala.