MISAALA GY’ABAKOZI BA GAV’T: Mugasa agamba eby’akakiiko akagirungamya biggwa mu myezi ebiri
Minisita Omubeezi ow'ensonga z'abakozi ba Gavumenti Mary Mugasa ategeezezza nga mu bbanga lya myezi ebiri okuva kati bwe bagenda okuba nga bamalirizza ensonga z'akakiiko kanalungamya emisaala gy'abakozi ba gavumenti okutwalizawamu (Salaries Review Commission). Okwogera bino Mugasa abadde ayanukula Ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensimbi z'omuwi w'omusolo abamutadde ku nninga okunyonnyola kyebagenda okukolera okusika omuguwa okuliwo wakati w'abakozi ba gavumenti banna science n’abatali olwenjawukana mu misaala.