Katikkiro awabudde kkooti ku kweyimirirwa kwa Ssewanyana ne Ssegirinya
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezeza ng’ababaka Allan Sewanyana owa Makindye West ne Muhamad Segirinya owa Kawempe North bwebasaana okukirizibwa okweyimirirwa akageri obujjulizi obubaluma gyebutanazuuka. Okusinziira ku Katikiro, kiri mu mateeka omuntu okukkirizibwa okweyimirwa ku kakalu ka kkooti. Ono abade mu kulambula eggombolola ya Makindye mituba III.