KASASIRO MU KIBUGA JINJA: Waliwo amaze ennaku nga tayoolebwa, atabudde abatuuze
Kasasiro eyeetuuma buli lukya atandise okufuuka ekizibu ekyamaanyi eri abantu abawangaalira n'okukolera mu kibuga Jinja era nga waliwo okutya nti yandivaako n'okubalukawo kw'endwadde eziva ku bukyafu. Ekifo kasasiro ono walina okuyiibwa ekyassibwawo gavumenti kyajjula dda ekyongedde okusajjula embeera.