ETTEMU E KAMULI: Omusajja asazeesaze abaana basatu, omu afudde
Waliwo omusajja e Kamuli mu zone ya Busamo mu ggombolola ye Butansi akkidde abaana basatu nabasalasala okukkakkana ng’omu amusse so ng’ababiri bapookya n’abiwundu mu ddwaliro Yusuf Mukisa ekimuggye mu mbeera be baana bano okumutegeeza nga bwe bajja okumuloopa ewa nnyabwe olw’okutunda akabizzi ke nga taliiwo Mukisa Poliisi emukutte era nga wakusimbibwa mu mbuga z'amateeka abitebye.