ENTEBBE BYATABUSE: Omu attiddwa omulala ali ku bisago
Poliisi yatandise dda okunoonyereza ku muntu akubiddwa essasi erimutiddewo ate omulala n’atwalibwa mu ddwaliro ng’ali bubi - akavuvung’ano kano kabaddewo abamu ku bawagizi ba Michael Mutebi munna-NRM bwe batandise okwekalakaasa nga bawakanya ebivudde mu kulonda kwa mmeeya we Entebbe ebikyuse okulaga Fabrice Rulinda ng’omuwanguzi. Eric Kyeyune omuvuzi wa bodaboda y’akubiddwa essasi naafa. E Wakiso ku kitebe kya disitulikiti nayo ttiyagaasi yakubiddwa okugumbulula abawakanya obuwanguzi bwa Fabrice Rulinda