ENKUNG’AANA EZIMENYA AMATEEKA: Aba NRM baagala poliisi ekome ku bantu baayo
Abakulu mu NRM baagala poliisi etandike okugumbulula abantu baayo abatagoberera mateeka ku kwerinda COVID-19 nga banoonya akalulu. Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina kino Rogers Mulindwa, kyasalibwaawo nti teli muna kibiina kino yenna akkirizibwa kukuba nkugaana ziteeka bulamu bwabantu mu matigga g'okufuna ekirwadde kino. Ne ssentebe w'ekibiina kino Yoweri Museveni azze akinogaanya nga bwatajja kussa bulamu bwabannayuganda mu mattigga ng'abakkiriza okumukungaanirako ng'abavuganya nabo bwebakola.