ENKAAYANA KU TTAKA: Nancy Kalembe alumiriza poliisi okwekobaana
Nancy Kalembe omu ku baavuganya ku bukulembeze bw'eggwanga agamba nti ali mu kusoberwa oluvanyuma lw'abantu bakaayana nabo okumenya ebimu ku by’abadde azimba ku ttaka eriri wakati wa Mutungo ne Kigo. Kalembe alumiriza poliisi y'e Kajjansi okwekobaana n’abantu abamu ne bagenda ku ttaka lino ne bamenya ennyumba n’abakozi abaabaddewo ne babayisa bubi. Kalembe gw’akaayana naye ku ttaka lino mukozi mu wofiis y’ebyamateeka mu kitongole ekiwooza omusolo ki URA. Poliisi eriko by'etubuliidde ku nsonga z’ettaka lino eririko ekiragiro kya kkooti ekigaana bonna abalikaayanira okubaako kye bakolerako