EKIZIYIRO KISSE ABAANA: Maama waabwe ali bubi, ssigiri y’evuddeko akabi
E Jinja abaana babiri bafiiridde mu nnyumba olwo ate maama waabwe n’addusibwa mu ddwaliro nga ali bubi olw’ekiziyiro ekyabazinzeeko mu kiro ekyakeesezza olwaleero. Abantu b’omu maka gano baliko ssigiri kwe baafumbidde munda mu nnyumba kyokka nebatagifulumya olwo n’eryoka eyokya empewo yonna ennamu eteekeddwa okussibwa abantu