Ekisanja kya People’s Government kyaweddeko, wabaddewo ensisinkano y’abakulu mu FDC
Ekibiina ki FDC kitegezezza nga ekisanja kya People’s government eky'emyaka ettaano bwekiweddeko nga ekiseera kino bali mu kusala ntoto kulaba butya bwebayinza okutambuzzaemu emirimu , nga bali wamu, Kinnajjuirwa nti People’s government yatondebwawo nga ekisinde oluvannyuma lwa Dokita Kizza Besigye okuwakanya ebyava mu kalulu ka 2016. Olwaleero wabaddewo ensisinkano y'olukiiko lwekibiina olwa NEC okutema empenda ezokutambuza ekibiina okukitwala mu maaso